Exodus 40:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olissa omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye mu maaso g'omulyango gw'Ekisulo, Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oliteeka mu maaso g'omulyango gwayo alutaari, ey'okwokerangako ebiweebwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu.