Exodus 40:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'oddira omuzigo ogusiiga, n'osiiga Ekisulo na buli kintu kyonna ekikirimu. Olikitukuza bw'otyo n'ebikirimu byonna, kibeere kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ogafuka ku Weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna; era eribeera entukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo olitukuza Eweema n'ebintu byonna ebirimu, n'obisiigako omuzigo omutukuvu, olwo erifuuka ntukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu.