Exodus 5:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Musa ne Aroni ne bagenda, ne bagamba Faraawo nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma Musa ne Alooni ne bajja ne bagamba Falaawo nti, “Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka w'e Misiri, ne bagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli agamba nti: Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma ne bajja Musa ne Alooni ne bagamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolere embaga mu ddungu.