Exodus 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakozesa abantu ne bannampala ne bafuluma okwogera eri abantu. Ne bagamba nti: “Faraawo awadde ebiragiro nti: ‘Sijja kubawa ssubi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakozesa abantu ne bavaayo n'abakulu baabwe, ne bagamba abantu nti, “Falaawo alagidde nti, ‘Temukyaweebwanga ssubi nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakozesa b'abantu n'abakulembeze baabwe ne bagenda ne bagamba abantu nti: “Kabaka agambye nti tajja kubawa ssubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakoza b'abantu ne bavaayo n'abaami baabwe, ne bagamba abantu nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Falaawo nti Siribawa ssubi.