Exodus 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakozesa abantu ne babacunga, nga babagamba nti: “Muteekwa okumaliriza omulimu gwammwe ogubasalirwa nga bwe mwakolanga nga mulina essubi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakoza baabwe ne babakubiriza nti, “Mutuukirize omuwendo gw'amatoffaali ge mubumba ogwa buli lunaku nga bwe mwakolanga nga mukyaweebwa essubi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakozesa ne babakubiriza nti: “Muweze omuwendo gw'amatoffaali agenkanankana n'ago ge mwabumbanga buli lunaku, essubi bwe lyabangawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakoza baabwe ne babakubiriza, nga boogera nti Mutuukirize emirimu gyammwe, emirimu egya buli lunaku, nga bwe mwakola essubi bwe lyabangawo.