Exodus 5:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bannampala Abayisirayeli abaali bateekeddwawo abakozesa ba Faraawo ne bakubibwa, ne babuuzibwa nti: “Lwaki jjo temwamaliriza kkatala lya mataffaali, n'olwa leero era ne luli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakozesa ba Falaawo ne bakuba abakulu b'abaana ba Isiraeri, nga bababuuza nti, “Lwaki jjo ne leero temwatuukirizza muwendo ogw'amatoffaali nga bulijjo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakozesa b'abantu ne bakuba abakulembeze b'Abayisirayeli abaateekebwawo okulabirira bannaabwe ku mulimu. Ne babagamba nti: “Lwaki olwajjo n'olwaleero temuwezezza muwendo gwa matoffaali nga ge mwabumbanga edda?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaami b'abaana ba Isiraeri, abakoza ba Falaawo be baakuza ku bo, ne bakubibwa, nga boogera nti Lwaki obutatuukiriza mulim>u gwammwe jjo ne leero okukola amatoffaali ng'edda?