Exodus 5:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannampala b'Abayisirayeli ne bajja, ne bakuba omulanga eri Faraawo, ne bagamba nti: “Lwaki oyisa otyo abaweereza bo?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne bajja ne bakaabira Falaawo, ne bagamba nti, “Lwaki otuyisa bw'otyo ffe abaddu bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulembeze b'Abayisirayeli ne bagenda eri kabaka, ne bamugamba nti: “Lwaki ffe abaweereza bo otuyisa bw'otyo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bajja abaami b'abaanal ba Isiraeri ne bakaabira Falaawo, nga boogera nti Kiki ekikukoza bw'otyo abaddu bo?