Exodus 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali ssubi liweebwa baweereza bo, ate batupeeka nti ‘Mukole amataffaali.’ Tuutuno abaweereza bo tukubibwa, sso ensobi eri na bantu bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tetukyaweebwa ssubi, ate batugamba okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bulijjo, ate tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebatuwa ssubi, naye ate ne batugamba okubumba amatoffaali! Era tuutuno tukubibwa. Naye omusango guli ku bantu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaddu bo tetuweebwa ssubi, ne batugamba nti Mukole amatoffaali: era, laba, abaddu bo tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo.