Exodus 5:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Faraawo n'addamu nti: “Muli banafu, ngajaba. Kyemuva mugamba nti: ‘Leka tugende, tuweereze Omukama ekitambiro.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu, kye muva mwogera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'addamu nti: “Muli bagayaavu bugayaavu! Kyemuva musaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Mukama.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye n'ayogera nti Mugayaala, mugayaala: kyemuva mwogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Mukama.