Exodus 5:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mudde ku mulimu. Temujja kuweebwa ssubi. Ate muteekwa okutuusa ekkatala ly'amataffaali.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakati mugende mubumbe amatoffaali, era temujja kuweebwa ssubi; kyokka muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano muddeeyo mukole. Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw'amatoffaali gwe gumu nga bwe mubadde mukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakati mugende mukole emirimu; kubanga temuliweebwa ssubi,naye nammwe munaaleetanga omuwendo gw'amatoffaali.