Exodus 5:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannampala b'Abayisirayeli ne balaba nga bali mu kabi olw'okubagamba nti: “Temujja kukendeeza ku mataffaali agabasabibwa buli lunaku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakulu b'abaana ba Isiraeri ne balaba ng'obuzibu bweyongedde, bwe baabagamba nti, “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'Abayisirayeli ne bategeera nga bali mu kabi, bwe baabagamba nti: “Temujja kukendeeza n'akatono ku muwendo gw'amatoffaali ogwa buli lunaku.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaami b'abaana ba Isiraeri ne balaba nga balabye obubi bwe bayogera nti Temulikendeeza ku matoffaali gammwe n'akatono, emirimu egya buli lunaku.