Exodus 5:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'addamu nti: “Omukama ye ani oyo gwe nteekwa okuwulira ne ndeka Abayisirayeli okugenda? Oyo Omukama simumanyi era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Falaawo n’abaddamu nti, “ Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'abuuza nti, “Mukama ye ani, nze okuwulira by'agamba okuleka Isiraeri okugenda? Nze Mukama simumanyi, era ne Isiraeri sijja kumuleka kugenda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abuuza nti: “Mukama ye ani, ndyoke mmuwulire, ndeke Yisirayeli okugenda? Nze simanyi Mukama, era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'ayogera nti Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Isiraeri.