Exodus 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babagamba nti: “Ne Katonda abatunuulire asalewo. Wuuno kati mutufudde kyenyinyalwa mu maaso ga Faraawo n'abakungu be. Mubatuwendulidde batutte n'ebitala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bannampala ne babagamba nti, “ Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagamba Musa ne Alooni nti, “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba Musa ne Arooni nti: “Mukama atunuulire kye mukoze, asale omusango, kubanga mutukyayisizza mu maaso ga kabaka ne mu maaso g'abaweereza be, ne mubawa kye baneekwasa batutte.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne babagamba nti Mukama abatunuulire asale omusango; kubanga mukyayisizza okuwunya kwaffe mu maaso ga Falaawo, ne mu maaso g'abaddu be, okubawa ekitala mu mukono gwabwe okututta.