Exodus 5:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'addayo eri Omukama, n'amugamba nti: “Ayi Mukama, lwaki obonyaabonya abantu bano? Wansindikira ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'adda eri Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki oyisa obubi abantu bano? Lwaki wantuma?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze?