Exodus 5:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kasooka nzija eri Faraawo ne njogera naye mu linnya lyo, abantu bano ababonyaabonya, ate naawe tolokodde abantu bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bo; so naawe tobawonyezza n'akatono!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga kasookedde nzija eri kabaka okwogera mu linnya lyo, abantu bo abayisizza bubi. Ate ggwe tolina ky'okozeewo okubawonya!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bano; so tewabawonya abantu bo n'akatono.