Exodus 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti: “Mmwe Musa ne Aroni, lwaki muggya abantu ku mulimu gwabwe? Muddeeyo ku mirimu gyammwe egy'okwetikka emigugu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Alooni nti, “Lwaki muggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeyo ku mirimu gyammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka w'e Misiri n'agamba Musa ne Arooni nti: “Lwaki mulesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende ku mirimu gyammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti Lwaki mmwe, Musa ne Alooni, okubalesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende eri emigugu gyammwe.