Exodus 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo lwennyini, Faraawo n'awa ekiragiro abakozesa abantu ne bannampala, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olwo Falaawo n'alagira abakozesa abantu n'abakulu baabwe, ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwo lwennyini, kabaka n'alagira abakozesa abantu n'abakulembeze baabwe nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku luli Falaawo n'alagira abakoza b'abantu n'abaami baabwe, ng'ayogera nti