Exodus 5:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mulekere awo okuwa abantu bano essubi ery'okukola amataffaali nga bwe mubadde mukola mu kusooka. Mubaleke bagende beekuŋŋaanyize essubi eryo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okukozesa amatoffaali nga bulijjo; bo bennyini bagende balyekuŋŋaanyize.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mulekere awo okuwa abantu essubi ery'okubumbisa amatoffaali. Bagende balyekuŋŋaanyize bo bennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temuwanga nate abantu essuubi ery'okukoza amatoffaali ng'edda: bagende beekuŋŋaanyize essubi.