Exodus 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mwongere okubasalira omuwendo gw'amataffaali gwe babadde babumba mu kusooka; temubakenderezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kye bava baleekaana nti: ‘Tugende tuweereze Katonda waffe ekitambiro’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omuwendo gw'amatoffaali, ge babumba bulijjo, gusigale nga bwe guli, temugukendeezaako n'akatono; kubanga bagayaavu; kyebaava basaba nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mubasalire bawezenga omuwendo gw'amatoffaali, nga gwe baabumbanga edda, muleme kugukendeezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kyebava basaba nti: ‘Tuleke tugende tuweeyo ebitambiro eri Katonda waffe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuwendo ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe.