Exodus 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Faraawo. N'omukono ogw'amaanyi ajja kuwalirizibwa abaleke mugende; olw'omukono ogw'amaanyi ajja kuwalirizibwa okubagoba mu nsi ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Kaakano onoolaba bye n'akola Falaawo; nja kukozesa obuyinza bwange muwalirize abaleke, ajja kubagoba bugobi mu nsi ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Kaakano onoolaba kye nnaakola kabaka, kubanga nja kumuwaliriza abaleke bagende. Ddala nja kumuwaliriza abagobe na bugobi mu nsi ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye.