Exodus 6:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Musa n'ayogera mu maaso ga Katonda, n'agamba nti: “Oba Abayisirayeli tebampulirizza, Faraawo anampuliriza atya nze ayogera anaanaagira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Mukama nti, “ Oba nga abaana ba Isiraeri tebampulidde; Kale Falaawo anaampulira atya nze atali mwogezi mulungi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Mukama nti: “Olaba n'Abayisirayeli tebampulirizza, kale olwo kabaka anaampuliriza atya nze atali mwogezi mulungi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa?