Exodus 6:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'ayogera eri Musa ne Aroni, n'abawa ebiragiro ku Bayisirayeli ne ku Faraawo kabaka wa Misiri, okuggya Abayisirayeli mu nsi ya Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alagira Musa ne Alooni nti, “Mugambe abaana ba Isiraeri ne Falaawo kabaka w'e Misiri, nti ndagidde mmwe okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'alagira Musa ne Arooni nti: “Mugambe Abayisirayeli ne kabaka w'e Misiri nti mbalagidde mmwe okuggya Abayisirayeli mu nsi ey'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abalagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka w'e Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri.