Exodus 6:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Simewoni be bano: Yemweli, Yamini, Owadi, Yakini, Zokari ne Sawulo mutabani w'omukazi Omukanaani. Gano ge masiga mu Simewoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Simyoni: Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani). Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Simyoni be bano: Yemweri, Yamini, Okadi, Yakini, Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani; mu abo mwe muva ekika kya Simyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana ba Simyoni be bano: Yemweli, ne Yamini, ne Ohadi ne Yakini, ne Zohari ne Sawuuli, omwana w'omukazi Omukanaani. Abo be b'omu Kika kya Simyoni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni.