Exodus 6:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gano ge mannya g'abatabani ba Leevi n'amazadde gaabwe: Gerusoni, Kewati ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri: Gerusoni ne Kokasi ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe: Gerusoni, Kokasi, ne Merali. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gano ge mannya g'abaana ba Leevi nga bwe baddiŋŋanwako mu kuzaalibwa: Gerusooni ne Kohati, ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.