Exodus 6:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Kewati baali: Amuramu, Yizuwari, Keburoni, ne Wuzziyeli. Kewati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be batabani ba Kokasi: Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni, ne Wuziyeeri. Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu (133).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kohati yazaala Amuraamu ne Yizuhaari ne Heburooni ne Wuzziyeeli. Kohati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu.