Exodus 6:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amuramu yawasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Aroni ne Musa. Amuramu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa. Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amulaamu yawasa Yokebedi ssenga we; n'amuzaalira Alooni ne Musa. Amulaamu n'awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu (137).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amuraamu n'awasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Arooni ne Musa. Amuraamu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amulaamu n'awasa Yokebedi muganda wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni, ne Musa: n'emyaka egy'obulamu bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.