Exodus 6:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Kora be bano: Assiri, Elukana ne Abiyasafu. Ezo ze nnyiriri z'Abakora.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano be baana ba Koola: Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu. Abo be b’omu kika kya Abakoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Koola be bano: Asira, Erukaana, ne Abiyasaafu; eyo ye nnyumba ya Koola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Koora yazaala Assira ne Elukaana ne Abiyasaafu. Abo be b'omu lunyiriri lwa Koora.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola.