Exodus 6:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eleyazari mutabani wa Aroni yawasa omu ku bawala ba Putyeli, n'amuzaalira Finekasi. Abo be bakulu ba bajjajja b'Abaleevi okusinziira ku masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi. Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eriyazaali, omwana wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo be bakulu b'ennyumba ab'omu kika kya Leevi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari omwana wa Arooni, n'awasa muwala wa Putiyeeli, n'amuzaalira Finehaasi. Abo be bakulu b'ennyumba n'ab'ennyiriri z'ekika kya Leevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eriyazaali omwana wa Alooni, n'awasa mu bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe.