Exodus 6:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
yagamba nti “Nze Mukama. Buulira Faraawo, kabaka w'e Misiri byonna bye nkugamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba Musa nti, “Nze Mukama; tegeeza Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yagamba Musa nti: “Nze MUKAMA. Tegeeza kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba.