Exodus 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nalabikira Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo nga Katonda Omuyinza wa buli kantu. Naye saabaleka kummanyira mu linnya lyange ‘Omukama’.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye ssaabamanyisa linnya lyange erya YAKUWA.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nalabikira Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo, nga Katonda Omuyinzawaabyonna. Naye saabamanyisa linnya lyange, MUKAMA.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nnalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo.