Exodus 6:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Omukama nti: “Nze ayogera anaanaagira lwaki Faraawo anampuliriza?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Mukama nti, “Laba, nze siri mwogezi mulungi, Falaawo anaampulira atya?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Mukama nti: “Nzuuno siri mwogezi mulungi, kale kabaka anampuliriza atya?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya?