Exodus 6:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nakola endagaano nabo okubawa ensi y'e Kanaani, ensi mwe baasenga, gye baalimu ng'abagwira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nyweza nate endagaano yange nabo, ey'okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng'abagwira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nanyweza endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanaani, gye baabeerangamu ng'abayise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu.