Exodus 6:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibeebonanya ne mubeera bantu bange, nange ndibeera Katonda wammwe. Olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggyayo ku mirimu gy'Abamisiri egy'okwetikka emigugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibafuula eggwanga lyange, ne mbeera Katonda wammwe, nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe abanunudde okuva mu kubonyaabonyezebwa kw'Abamisiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibafuula mmwe abantu bange, era ndiba Katonda wammwe. Mulimanya nga Nze Mukama Katonda wammwe abaggye mu kubonyaabonyezebwa Abamisiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu migugu egy'Abamisiri.