Exodus 6:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo nzija kubaleeta mu nsi gye nalayira nti ndigiwa Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo; ndigibawa nga yammwe ddala, nze Mukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibayingiza mu nsi eri, gye nneerayirira okuwa, Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa mmwe okubeera obutaka. Nze Yakuwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibayingiza mu nsi, gye nalayira okuwa Aburahamu ne Yisaaka ne Yakobo. Ndigibawa mmwe ebe obutaka bwammwe. Nze Mukama.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa.