Exodus 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abuulira bino Abayisirayeli, kyokka tebaamuwuliriza, olw'obwennyifu bw'omutima n'obuddu bwabwe obuyitiriddemu obukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Musa ne batamukkiriza kubanga mu mitima gyabwe baali baterebuse olw'okubonyabonyezebwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba bw'atyo Abayisirayeli, kyokka ne batamukkiriza, kubanga baali baterebuse olw'okufugibwa n'okutuntuzibwa ng'abaddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe.