Exodus 7:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Musa ne Aroni ne bagendera ddala eri Faraawo ne bakola ng'Omukama bwe yabalagira. Aroni n'asuula wansi omuggo gwe mu maaso ga Faraawo n'olukiiko lwe, ne gufuuka omusota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Alooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be, ne gufuuka omusota.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ne Arooni ne bagenda eri kabaka, ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga kabaka n'ag'abakungu be, ne gufuuka omusota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira: Aloni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddube, ne guba omusota.