Exodus 7:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Faraawo n'ayita abagezigezi, abasawo, n'abalaguzi b'e Misiri ne bakola kye kimu n'obukodyo bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo naye n'alyoka ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri; era nabo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayita abagezigezi n'abalogo Abamisiri, nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo naye nalyoka ayita abagezi n’abalogo: era nabo abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo n’amagezi gaabwe ag’ekyama.