Exodus 7:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Faraawo agugubye, agaanyi okuleka abantu bange okugenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo mukakanyavu, kubanga agaanyi okuleka abantu okugenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Omutima gwa kabaka mukakanyavu, agaanye okuleka abantu okugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agaana okubaleka abantu.