Exodus 7:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugambe nti: ‘Omukama Katonda w'Abeebureeyi, antumye okukugamba nti: Leka abantu bange bagende, bansinze mu ddungu. N'okutuusa kati, okyagaanyi okuwulira.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olyoke omugambe nti, ‘ Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugambe nti, ‘Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, antumye gy'oli ng'ayogera nti, Leka abantu bange, bagende mu ddungu bampeerereze;’ naye n'okutuusa kaakano ogaanyi okuwulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abayisirayeli antumye gy'oli okukugamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze mu ddungu. Naye n'okutuusa kaakano towulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omugamba nti Mukama, Katonda wa Baebulaniya, antumye gy’oli ng’ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mu ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira.