Exodus 7:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama agambye nti: ‘Kuno kw'onoomanyira nga nze Mukama: nzija kukuba amazzi ga Kiyira n'omuggo gwe nkutte mu ngalo; gajja kufuuka omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, “Ku kino kw'olimanyira nga nze Mukama: ndikuba amazzi agali mu mugga n'omuggo oguli mu mukono gwange, nago galifuuka omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Mukama agamba bw'ati nti: Ku kino kw'olimanyira nga Nze MUKAMA. Laba, omuggo gwe nkutte, nja kugukuba ku mazzi agali mu mugga, gafuuke omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw’atyo Mukama bw'ayogera nti Ku kino kw’olimanyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n’omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuuka omusaayi.