Exodus 7:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyennyanja mu Kiyira bijja kufa, n'amazzi gajja kuwunya bubi ng'Abamisiri tebakyasobola kunywa mazzi ago.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eby'omu nnyanja birifa, n'omugga guliwunya; n'Abamisiri tebaliyinza kunywa ku mazzi gaagwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyennyanja bijja kufa, omugga guwunye, Abamisiri batamwe okunywa amazzi ag'omu mugga.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N’eby’omu nnyanja birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag’omu mugga galibatama okunywako.