Exodus 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Aroni nti: ‘Kwata omuggo gwo, ogololere omukono gwo ku mazzi g'e Misiri, ku migga gyabwe ne ku mikutu, ku bidiba byabwe ne ku buli kuŋŋaaniro ly'amazzi.’ Mu nsi yonna ey'e Misiri amazzi gajja kufuuka musaayi: agali mu ntiba ne mu nsuwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogugololere ku mazzi g'e Misiri: ku migga gyabwe, ku myala gyabwe, ku bidiba byabwe ne ku nnyanja zaabwe zonna ez'amazzi, gafuuke omusaayi.’ Omusaayi gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri, mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Twala omuggo gwo, ogugolole ku mazzi ag'omu Misiri: ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ne ku nzizi zaabwe zonna ez'amazzi, amazzi gafuuke omusaayi, gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, okutuukira ddala ne mu ntiba ez'emiti ne mu nsuwa ez'amayinja.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n’agamba Musa nti Gamba Alooni nti Twala omuggo gwo ogolole omukono gwo ku mazzi g’e Misiri, ku migga gyabwe, ku nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne ku nnyanja zaabwe zonna ez’amazzi, gafuuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri, mu ntiba ez’omuti ne mu nsuwa ez’amayinja.