Exodus 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe onoomubuulira bye nnaakulagira, olwo Aroni muganda wo n'abuulira Faraawo aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojjanga kwogera bye nkulagira, ne muganda wo Alooni ayogere ne Falaawo asobole okuleka abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olyogera buli kye nkulagira; ne Alooni muganda wo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olitegeeza Arooni muganda wo buli kye nkulagira, ye n'ategeeza kabaka, aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olyogera kye nkulagira: ne Alooni mugandawo aligamba Falaawo, aleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye.