Exodus 7:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni ne bakola ng'Omukama bwe yabalagira. N'asitula omuggo gwe mu maaso ga Faraawo n'ag'abakungu be bonna, n'akuba amazzi ga Kiyira, amazzi gonna mu Kiyira ne gafuuka omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n'ayimusa omuggo, n'akuba amazzi agaali mu mugga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g'abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bakola nga Mukama bwe yalagira. Arooni n'agolola omuggo, n'akuba ku mazzi ag'omu mugga, nga kabaka n'abakungu be balaba, amazzi gonna ag'omu mugga ne gafuuka omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bwe yalagira; n’ayimusa omuggo, n’akuba amazzi agali mu migga, mu maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddu be; amazzi gonna agaali mu mugga ne gafuuka omusaayi.