Exodus 7:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyennyanja mu Kiyira ne bifa, omugga ne guwunya bubi, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ago, wonna mu Misiri nga musaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eby'omu mugga ne bifa; omugga ne guwunya, Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi ga mugga Kiyira; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyennyanja eby'omu mugga ne bifa, omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa mazzi gaamu. Ne waba omusaayi mu nsi yonna ey'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N’eby’omu muagga ne bifa; omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey’e Misiri.