Exodus 7:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalaguzi b'e Misiri ne beeyamba obukodyo bwabwe, ne bakola kye kimu. Faraawo n'aguguba, n'atawuliriza Musa ne Aroni ng'Omukama bwe yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasawo Abamisiri ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag'ekyama; Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abasawo Abamisiri nabo ne bakola ekintu kye kimu, mu magezi gaabwe ag'ekyama. Kabaka n'asigala ng'akyakakanyazizza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag’ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.