Exodus 7:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Faraawo talikuwuliriza; bwe ntyo ndissa omukono gwange ku Misiri ne neeyambisa ebibonerezo eby'amaanyi ne nzigya amagye gange, abantu bange Yisirayeli, mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
tagenda kubawuliriza. Ndirumba Misiri n’amaanyi, ne ngisalira omusango, ne ndyoka nzigyayo abantu bange Abayisirayiri bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Falaawo talibawuliriza, nange ndikozesa amaanyi, ne nzigya abantu bange, abaana ba Isiraeri mu Misiri, nga maze okugibonereza ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza nnyo Misiri, ne nzigya ebika by'abantu bange Abayisirayeli mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Falaawo talibawulira, nange nditeekako omukono gwange ku Misiri ne nfulumya eggye lyange, abantu bange abaana ba Isiraeri, mu nsi y'e Misiri, n'emisango eminene.