Exodus 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne nzigya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri, Abamisiri bonna balimanya nti nze Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Abamisiri balitegeera nti Nze Mukama, bwe ndirumba Misiri n’amaanyi ne nzigyayo Abayisirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndikozesa obuyinza bwange okubonereza Misiri ne nzigyayo abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'Abamisiri balimanya nga Nze Mukama, bwe ndibonereza Misiri, ne nzigyayo Abayisirayeli mu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N’abo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyayo abaana ba Isiraeri mu bo.