Exodus 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti: “Faraawo bw'agamba nti ‘Mukoleewo ekyewuunyo;’ gamba Aroni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Faraawo; gujja kufuuka omusota.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Falaawo bw'alibagamba nti, ‘Mukoleewo eky'amagero;’ awo n'olyoka ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gufuuke omusota.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabaka bw'alibagamba nti: ‘Mukoleewo ekyamagero,’ ggwe Musa oligamba Arooni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga kabaka gufuuke omusota.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo bw'alibagamba ng'ayogera nti Mukoleewo eky'amagero: n'olyoka ogamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota.