Exodus 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Aroni nti: ‘Gololera omukono gwo n'omuggo gwo ku migga eminene ne ku mikutu ne ku ntobazzi, oleete ku nsi y'e Misiri ebikere.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ggenda ewa Falaawo omugambe nti, ‘ Mukama agambye bw’ati nti, “Leka abantu bange bagende, balyoke bansinze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo, omugambe nti, Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti, Leka abantu bange, bampeereze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n’agamba Musa nti yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw’atyo Mukama bwayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.